Leviticus 1:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Obanga ekitone eky'ekitambiro ekyokye kivudde mu kisibo, kwe kugamba nti mu ndiga oba mu mbuzi, aweerezanga kirume, ekitaliiko kamogo;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ekinaaleetebwanga okuba ekiweebwayo ekyokebwa bwe kinaavanga mu kisibo, oba ndiga oba mbuzi, omuntu oyo anaawangayo ennume etaliiko kamogo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Era bw'anaawangayo ku ndiga ze oba ku mbuzi ze, okuba ekiweebwayo ekyokebwa, anaawangayo nnume eteriiko bulema.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Bw'anaawangayo ekitambiro ekyokebwa ng'aggya mu ndiga ze, oba mu mbuzi ze, anaawangayo nnume eteriiko kamogo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era oba ng'awaayo ku kisibo, kwe kugamba nti ku ndiga oba ku mbuzi, okuba ekiweebwayo ekyokebwa; anaawangayo nnume eteriiko bulema.