Leviticus 1:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
akittiranga mu maaso g'Omukama ku luuyi lw'omwaliiro olutunuulidde emambuka. Batabani ba Aroni, bakabona, omusaayi gwakyo ne bagumansira ku mwaliiro okugwetoolooza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Anaagittiranga ku luuyi olwakkono olw’ekyoto mu maaso ga Mukama, era batabani ba Alooni, bakabona, banaamansiranga omusaayi gwayo ku njuyi zonna ez’ekyoto okukyebungulula.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era anaagittiranga ku luuyi lw'ekyoto olw'obukiikakkono mu maaso ga Mukama; n'abaana ba Alooni, bakabona, banaamansiranga omusaayi gwayo ku kyoto enjuyi zonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Anaagittiranga ku ludda lw'alutaari olw'ebukiikakkono, bakabona ne bamansira omusaayi gwayo ku njuyi zonna ez'alutaari.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era anaagittiranga ku luuyi lw'ekyoto olw'obukiika obwa kkono mu maaso ga Mukama: n'abaana ba Alooni, bakabona, banaamansiranga omusaayi gwayo ku kyoto enjuyi zonna.