Leviticus 1:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anaayozanga mu mazzi ebyenda n'amagulu, byonna kabona n'abyokera ku mwaliiro okutuusa okusirikka. Ekyo kitambiro ekyokye, ekiwonge n'omuliro, akawoowo akasanyusa Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eyaleese ekiweebwayo ekyo anaanaazanga n’amazzi eby’omu lubuto n’amagulu; ebyo byonna kabona anaabiwangayo, n’abyokya ku kyoto, nga kye kiweebwayo ekyokebwa ekyokeddwa mu muliro, ne kivaamu evvumbe eddungi erisanyusa Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye ebyenda n'amagulu anaabinaazanga n'amazzi; awo kabona anaawangayo byonna, anaabyokeranga ku kyoto; kye kiweebwayo ekyokebwa n'omuliro eky'evvumbe eddungi eri Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyenda n'amagulu anaabyozanga n'amazzi, kabona n'awaayo ekitambiro eri Mukama, era kyonna n'akyokera ku alutaari. Evvumbe lyakyo eddungi, lisanyusa Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye ebyenda n'amagulu anaabinaazanga n'amazzi: awo kabona anaawangayo yonna, anaagyokeranga ku kyoto: kye kiweebwayo ekyokebwa ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama.