Leviticus 1:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Oba ekitone ky'ekitambiro ekyokye ky'aweerezza Omukama kivudde mu binyonyi, aweerezanga jjiba oba enjiibwa ento.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama bwe kinaabanga eky’ennyonyi, omuntu anaaleetanga ekiweebwayo eky’amayiba oba eky’enjiibwa ento.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Era bw'anaawangayo eri Mukama ekiweebwayo ekyokebwa eky'ennyonyi, anaawangayo bukamukuukulu oba amayiba amato.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Era bw'anaawangayo ekitambiro ekyokebwa eky'ekinyonyi, anaawangayo enjiibwa oba ejjiba etto.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era oba ng'awaayo eri Mukama ekiweebwayo ekyokebwa eky'ennyonyi, anaawangayo bukaamukuukulu oba amayiba amato.