Leviticus 1:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Akwatanga ebiwaawatiro byakyo ku buli luuyi n'akiryebulamu wabiri, naye ate nga takikutuddeemu. Olwo kabona anaakyokyanga ku nku ezikoleezeddwa ku mwaliiro. Ekyo kitambiro ekyokye, ekiwonge n'omuliro, akawoowo akasanyusa Omukama.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Anaagikwatanga ebiwaawaatiro n’agiyuza; kyokka taagiryebulirengamu ddala. Anaagyokeranga ku nku ezikoledde omuliro mu kyoto; nga kye kiweebwayo ekyokebwa ekyokeddwa mu muliro ne kivaamu evvumbe eddungi erisanyusa Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era anaakayuzanga n'ebiwawaatiro byako, takasalangamu. Awo kabona anaakookeranga ku kyoto, ku nku eziri ku muliro; kye kiweebwayo ekyokebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Anaakakwatanga ebiwaawaatiro, n'akayuzaamu, naye n'atakakutulamu wabiri, n'akookera ku alutaari ku nku eziri ku muliro. Evvumbe lyako eddungi, lisanyusa Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era anaakayuzanga n'ebiwaawaatiro byako, takasalangamu: awo kabona anaakookeranga ku kyoto, ku nku eziri ku muliro: kye kiweebwayo ekyokebwa, ekiweebwayo ekikolebwa n'omuliro, eky'evvumbe eddungi eri Mukama.