Leviticus 1:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Yogera eri Abayisirayeli obagambe nti: “ ‘Bwe mubangamu mu mmwe aweereza Omukama ekitone, ekitone kyammwe bwe kibanga kivudde mu bisolo by'awaka, kivanga mu ggana oba mu kisibo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Yogera n’abaana ba Isirayiri obagambe nti, ‘Omuntu yenna mu mmwe bw’aneeteesanga okuleeta ekiweebwayo eri Mukama, anaaleetanga ekiweebwayo kya nte ng’agiggya mu kiraalo kye, oba endiga oba embuzi ng’agiggya mu kisibo kye.’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Yogera n'abaana ba Isiraeri obagambe nti omuntu yenna mu mmwe bwawangayo ekiweebwayo, anaakiggyanga ku nte ze, oba ku mbuzi ze.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Yogera n'Abayisirayeli obagambe nti bwe wabangawo mu mmwe awaayo ekitambiro eri Mukama, anaakiwangayo ng'aggya mu nte ze, oba mu ndiga ze, oba mu mbuzi ze.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yogera n'abaana ba Isiraeri obagambe nti Omuntu yenna ku mmwe bw'awangayo ekitone eri Mukama, munaakiwangayo okukiggya ku nsolo, ku nte ne ku mbuzi.