Leviticus 1:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Ekitone ky'ekitambiro ekyokye bwe kibanga kivudde mu ggana, kibeeranga kya nnume ento eteriiko kamogo. Akireetanga ku mulyango gwa Weema ey'Ensisikano Omukama alyoke akisiime
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ekiweebwayo bwe kinaabanga ekiweebwayo ekyokebwa nga kiva mu kiraalo ky’ente, anaawangayo seddume etaliiko kamogo. Anaagyereeteranga n’agiweerayo ku mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, kiryoke kikkirizibwe eri Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Bw'anaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa ku nte, anaawangayo nnume eteriiko bulema; anaagiweerangayo ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu, alyoke akkirizibwenga mu maaso ga Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bw'anaawangayo ekitambiro ekyokebwa ng'aggya mu nte ze, anaawangayo nnume eteriiko kamogo. Anaagiweerangayo mu mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama, alyoke akkirizibwenga mu maaso ga Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oba ng'awaayo ekiweebwayo ekyokebwa ku nte, anaawangayo nnume eteriiko bulema: anaagiweerangayo ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, alyoke akkirizibwenga mu maaso ga Mukama.