Leviticus 1:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwo ente ennume ento aggittiranga mu maaso g'Omukama, batabani ba Aroni, bakabona, ne baweereza omusaayi gwayo nga bagumansira ku mwaliiro oguli ku mulyango gwa Weema ey'Ensisinkano okugwetoolooza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Seddume eyo anaagittiranga mu maaso ga Mukama; era batabani ba Alooni, bakabona, banaddiranga omusaayi gwayo ne baguwaayo eri Mukama nga bagumansira ku kyoto okwebungulula enjuuyi zonna ez’ekyoto ekiri awo okumpi n’omulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo anattiranga ente mu maaso ga Mukama: n'abaana ba Alooni, bakabona, banaaleetanga omusaayi, ne bagumansira ku njuyi zonna ez'ekyoto ekiri ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Anattiranga ente eyo mu maaso ga Mukama, bakabona ab'olulyo lwa Arooni ne batwala omusaayi, ne bagumansira ku njuyi zonna ez'alutaari eri ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo anattiranga ente mu maaso ga Mukama: n'abaana ba Alooni, bakabona, banaaleetanga omusaayi, era banaamansiranga omusaayi ku kyoto enjuyi zonna ekiri ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu.