Leviticus 1:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Batabani ba Aroni, bakabona, ne bakuma omuliro mu mwaliiro, ne bassa enku ku muliro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Batabani ba Alooni, kabona, banaakumanga omuliro mu kyoto, ne batindikira bulungi enku ku muliro ogwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abaana ba Alooni kabona, banaateekanga omuliro ku kyoto, ne batindikira enku ku muliro;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bakabona banaakoleezanga omuliro ku alutaari, ne bagutindirako enku.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abaana ba Alooni kabona banaateekanga omuliro ku kyoto, ne batindikira enku ku muliro: