Leviticus 1:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwo bakabona batabani ba Aroni bassanga ebitundu ebitemeddwatemeddwa, omutwe n'amasavu ku nku eziri ku mwaliiro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo batabani ba Alooni, bakabona, banaategekanga bulungi ebifi ebyo, nga n’omutwe n’amasavu babitaddeko; banaabissanga ku nku ezikoledde omuliro ku kyoto.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
awo abaana ba Alooni, bakabona, banaateekateekanga ebifi, omutwe n'amasavu, ku nku eziri ku muliro oguli ku kyoto;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Banaateekanga ku muliro ogwo ebifi by'ennyama, n'omutwe, era n'amasavu. Ebifi by'ennyama n'omutwe era n'amasavu banaabiteekanga ku nku ezo eziri ku muliro, ku alutaari.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
awo abaana ba Alooni, bakabona, banaateekateekanga ebifi, omutwe n'amasavu, ku nku eziri ku muliro oguli ku kyoto: