Leviticus 10:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Batabani ba Aroni, Nadabu ne Abiwu baddira ebyoterezo buli omu ne bassaamu omuliro, ne bagattako obubaani, ne baweereza mu maaso g'Omukama ekitambiro eky'omuliro ekitakkirizibwa, kye yali tabalagidde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo olwatuuka, batabani ba Alooni, Nadabu ne Abiku ne beetwalira buli omu ekyoterezo kye, ne bateekamu omuliro, ne bassaako obubaane, ne bawaayo eri Mukama Katonda omuliro ogutali mutukuvu, ne basobya ekiragiro kye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Nadabu ne Abiku, abaana ba Alooni, ne baddira ebyoterezo buli omu ekikye, ne babiteekamu omuliro, ne bassaako eby'okwoteza, ne bawaayo omuliro omulala Mukama gw'ataalagira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Nadabu ne Abihu, batabani ba Arooni, ne baddira ebyoterezo buli omu ekikye, ne babiteekamu omuliro, ne bateekako obubaane, ne baguleeta mu maaso ga Mukama. Naye omuliro ogwo tegwali mutukuvu, kubanga Mukama si ye yalagira okuguleeta.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Nadabu ne Abiku, abaana ba Alooni ne baddira ebyoterezo buli muntu ekikye, n'ateeka omwo omuliro, n'assaako eby'okwoteza, n'awaayo omuliro omulala mu maaso ga Mukama, gw'atalagiranga.