Leviticus 10:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa n'agamba Aroni ne batabani be abaali basigaddewo, Eleyazari ne Yitamari nti: “Muddire ekitone eky'obuwunga obw'ekitambiro ekyafisseewo ku kiri ekyawongeddwa Omukama n'omuliro, mukiriire awo okumpi n'omwaliiro nga temuli kizimbulukusa, kubanga kitukuvu nnyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Musa n’agamba Alooni ne Eriyazaali ne Isamaali, batabani ba Alooni abaali basigaddewo, nti, “Mutwale ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke ekyasigaddewo ku biweebwayo ebyokebwa eri Mukama Katonda nga si kizimbulukuse, mukiriire okumpi n’ekyoto kubanga kitukuvu nnyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'agamba Alooni ne batabani be abaasigalawo: Eriyazaali ne Isamaali nti, “Mutwale ekiweebwayo eky'obutta ekisigaddewo ku biweebwayo eri Mukama ebyokebwa n'omuliro, era nga tekizimbulukusiddwa, mukiriire ku mabbali g'ekyoto, kubanga kye kitukuvu ennyo;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Arooni ne batabani be Eleyazaari ne Yitamaari abaasigalawo, Musa n'abagamba nti: “Mutwale ekiweebwayo eky'emmere ey'empeke ekisigaddewo ku biweebwayo eri Mukama ebyokebwa, mukikolemu emigaati egitazimbulukusiddwa, mugiriire ku mabbali g'alutaari, kubanga ekiweebwayo ekyo kitukuvu nnyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'agamba Alooni ne Eriyazaali ne Isamaali abaana be abaasigalawo nti Mutwale ekiweebwayo eky'obutta ekisigaddewo ku biweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omuliro, mugiriire awatali kizimbulukusa ku mabbali g'ekyoto: kubanga kye kitukuvu ennyo: