Leviticus 10:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mukiriire mu kifo ekitukuvu, kubanga gwe mugabo gwo ne batabani bo ku kitambiro ekyawongeddwa Omukama n'omuliro. Bwe ntyo bwe nalagirwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukiriire mu kifo ekitukuvu, kubanga gwe mugabo gwo, era gwe mugabo gw’abatabani bo, nga guva ku kiweebwayo eri Mukama Katonda ekyokebwa; bwe ntyo bwe ndagiddwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era munaakiriiranga mu kifo ekitukuvu, kubanga gwe mugabo gwo n'abaana bo, ku biweebwayo ebya Mukama ebyokebwa n'omuliro; kubanga bwe ntyo bwe nnalagirwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mugiriire mu Kifo Ekitukuvu. Gwe mugabo gwo ggwe Arooni, n'ogwa batabani bo, ku byokulya ebiweebwayo eri Mukama. Ekyo Mukama kye yandagira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era munaagiriira mu kifo ekirukuvu, kubanga lye bbanja lyo, era bbanja lya baana bo, ku biweebwayo ebya Mukama ebikolebwa n'omuliro: kubanga bwe ntyo bwe nnalagirwa.