Leviticus 10:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ekifuba ekiwuubibwa n'ekisambi ekya ddyo ekiwongebwa, ggwe ne batabani bo ne bawala bo, muyinza okubirya. Mubiriiranga mu kifo ekirongoofu, kubanga biggyiddwa ku kitambiro eky'okussa ekimu eky'Abayisirayeli, ne bikuterekerwa ggwe n'abaana bo ng'omugabo gwammwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ekifuba ekiwuubibwa n’ekisambi ekiweebwayo munaabiriira mu kifo kyonna kye munaalaba ekirongoofu; mubirye, ggwe ne batabani bo ne bawala bo b’oli nabo; kubanga bibaweereddwa ng’omugabo gwammwe, ggwe n’abaana bo, nga biva ku biweebwayo olw’emirembe ebiweereddwayo abaana ba Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ekifuba ekiweebwayo ekiwuubibwawuubibwa, n'ekisambi ekisitulibwa, ggwe ne batabani bo ne bawala bo munaabiriiranga mu kifo ekirala kyonna ekirongoofu, kubanga ebyo byabaweebwa okuba omugabo gwammwe ku ssaddaaka z'ebyo abaana ba Isiraeri bye bawaayo olw'emirembe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ekifuba ekiweebwayo nga kiwuubibwa, n'ekisambi ekiweebwayo nga kisitulibwa, ggwe ne batabani bo ne bawala bo munaayinzanga okubiriira mu kifo kyonna ekirongoofu, kubanga ebyo bikuweebwa ggwe n'abaana bo, nga gwe mugabo gwammwe bakabona, ku bitambiro ebiweebwayo Abayisirayeli olw'okutabagana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ekifuba ekiwuubibwawuubibwa n'ekisambi ekisitulibwa munaabiriira mu kifo ekirongoofu; ggwe ne batabani bo ne bawala bo awamu naawe: kubanga biweebwa gy'oli okuba ebbanja lyo, era ebbanja ly'abaana bo, ku ssaddaaka z'ebyo abaana ba Isiraeri bye bawaayo olw'emirembe.