Leviticus 10:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekisambi ekiwongebwa, ekifuba ekiwuubibwa n'amasavu ag'okuweereza ku muliro bireetebwanga ne biwuubibwa mu maaso g'Omukama ng'ekitambiro olw'ekibi. Guno gwe mugabo gw'abaana bo ogw'olubeerera ng'Omukama bwe yalagira.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekisambi ekiweereddwayo n’ekifuba ekiwuubibwa, binaaleetebwa awamu n’amasavu ag’oku biweebwayo ebyokebwa, ne biwuubibwawuubibwa nga kye kiweebwayo ekiwuubibwa awali Mukama, era kinaabeeranga mugabo gwo awamu ne batabani bo emirembe gyonna; nga Mukama Katonda bw’alagidde.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekisambi ekisitulibwa n'ekifuba ekiwuubibwawuubibwa banaabireeteranga wamu n'ebiweebwayo ebyokebwa n'omuliro eby'amasavu, okubiwuubawuuba okuba ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama; era binaabanga bibyo, n'abaana bo, okuba omugabo gwammwe emirembe gyonna, nga Mukama bwe yalagira.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Banaaleetanga ekisambi ekisitulibwa n'ekifuba ekiwuubibwa nga baleeta amasavu okuba ekiweebwayo eri Mukama ekyokebwa. Ebitundu ebyo banaabiwuubanga, bibe ebiweebwayo ebiwuubibwa mu maaso ga Mukama. Era binaabanga bibyo era bya baana bo ennaku zonna, nga Mukama bwe yalagira.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekisambi ekisitulibwa n'ekifuba ekiwuubibwawuubibwa banaabireeteranga wamu n'ebiweebwayo ebikolebwa n'omuliro eby'amasavu, okubiwuubawuuba okuba ekiweebwayo ekiwuubibwa mu maaso ga Mukama: era binaabanga bibyo, era bya baana bo awamu naawe, okuba ebbanja emirembe gyonna; nga Mukama bwe yalagira.