Leviticus 10:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa bwe yabuuza ku kyabadde ku mbuzi ennume olw'ekibi, n'amanya nti yayokeddwa, n'anyiigira Eleyazari ne Yitamari batabani ba Aroni be yali asigazza, n'abuuza nti:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Musa n’abuuliriza ebyali bifudde ku mbuzi ey’ekiweebwayo olw’ekibi, n’avumbula nga baagyokezza dda, n’anyiigira batabani ba Alooni abaali basigaddewo, Eriyazaali ne Isamaali, n’ababuuza nti,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Musa n'abuuza ebifa ku mbuzi ey'ekiweebwayo olw'ekibi, n'azuula nga yayokeddwa dda. N'asunguwalira Eriyazaali ne Isamaali abaana ba Alooni abaasigalawo ng'ayogera nti,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa n'abuuza ebifa ku mbuzi ey'ekitone ekiweebwayo olw'ekibi. N'azuula nga yayokeddwa dda. N'asunguwalira Eleyazaari ne Yitamaari, batabani ba Arooni abaasigalawo. N'ababuuza nti:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'anoonyeza ddala embuzi ey'ekiweebwayo olw'ekibi, era, laba, ng'eyokeddwa: n'asunguwalira Eriyazaali ne Isamaali abaana ba Alooni abaasigalawo ng'ayogera nti