Leviticus 10:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Lwaki ekitambiro olw'ekibi temwakiriiridde mu Kifo Ekitukuvu? Kintu kitukuvu nnyo. Kyabaweebwa, mwetikke bwe mutyo omusango gw'ebyonoono by'ekibiina kyonna, muddaabirize ku lwabwe eri Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Lwaki ekiweebwayo ekyo olw’ekibi temwakiriiridde, wali awatukuvu? Kitukuvu nnyo. Kyabaweereddwa kiryoke kiggyiseeko abantu bonna ebibi byabwe, nga mmwe mubatangiririra awali Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Lwaki temwaliira ekiweebwayo olw'ekibi mu kifo ekitukuvu? Ekiweebwayo ekyo kitukuvu nnyo, era yakibawa okusitula obubi bw'ekibiina, okubatangirira mu maaso ga Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ekitone ekiweebwayo olw'ekibi, lwaki temukiriiridde mu Kifo Ekitukuvu? Ekitone ekyo kitukuvu nnyo, era Mukama yakibawa okuggyawo ebibi by'ekibiina, n'okuddaabiriza ku lw'ekibiina mu maaso ga Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekibalobedde okuliira ekiweebwayo olw'ekibi mu kifo eky'awatukuvu kiki, kubanga kitukuvu nnyo, era yakibawa okusitula obubi bw'ekibiina, okubatangirira mu manso ga Mukama?