Leviticus 10:18 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga omusaayi gwakyo tegwayingizibwa mu Kitukuvu, mwali muteekwa okukiriira mu Kifo Ekitukuvu, nga bwe nabalagira.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ng’omusaayi gwayo bwe gutaatwaliddwa munda mu Kifo Ekitukuvu, embuzi eyo ddala mwandigiriiridde awo awatukuvu nga bwe nabalagira.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, omusaayi gwakyo teguleeteddwa mu watukuvu munda; mwandikiriiridde mu watukuvu, nga bwe nnalagira.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omusaayi gwakyo nga bwe gutaaleeteddwa mu Weema Entukuvu, mwandikiriiridde omwo, nga bwe nalagira.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, omusaayi gwakyo teguleeteddwa mu watukuvu munda; temwandiremye kugiriira mu watukuvu, nga bwe ndagidde.