Leviticus 10:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Aroni n'ayanukula Musa nti: “Olwa leero baweerezza ku lwabwe ekitambiro olw'ekibi n'ekitambiro ekyokye mu maaso g'Omukama, naye ebiri nga bino byanzijidde. Mba kulya kitambiro olw'ekibi, Omukama yandisanyuse?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Alooni n’addamu Musa nti, “Laba, olwa leero bawaddeyo eri Mukama Katonda ekiweebwayo olw’ebibi byabwe n’ekiweebwayo kyabwe ekyokebwa; naye era ebintu nga bino ne bingwako. Mukama Katonda yandisanyuse singa leero ndidde ekiweebwayo olw’ekibi?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Alooni n'agamba Musa nti, “Laba, leero bawaddeyo ekyo kye bawaayo olw'ekibi, n'ekyo kye bawaayo ekyokebwa mu maaso ga Mukama; era onnenyezza olw'ebyo, kale singa ndidde ekiweebwayo olw'ekibi leero, kyandibadde kirungi nnyo mu maaso ga Mukama?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Arooni n'addamu nti: “Olwaleero abantu baleese ekitone ekiweebwayo olw'ekibi, era bawaddeyo ekiweebwayo ekyokebwa, naye era ne ntuukibwako ebizibu bino byonna. Kale era singa ndidde ekitone ekiweebwayo olw'ekibi, Mukama yandisiimye?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Alooni n'agamba Musa nti Laba, leero bawaddeyo ekyo kye bawaayo olw'ekibi n'ekyo kye bawaayo ekyokebwa mu maaso ga Mukama; era bimbaddeko ebigambo ebyenkanidde wano: era singa ndidde ekiweebwayo olw'ekibi leero, kyandibadde kirungi nnyo mu maaso ga Mukama?