Leviticus 10:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa n'agamba Aroni nti: “Kino Omukama kye yali ategeeza bwe yagamba nti: “ ‘Ndyoleka obutuukirivu bwange mu abo abansemberera, mu maaso g'abantu bonna ndiraga ekitiibwa kyange.’ ” Aroni yasirika busirisi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Musa n’agamba Alooni nti, Kino Mukama Katonda kye yayogerako bwe yagamba nti, “ ‘Nzija kweyolekanga nga bwe ndi omutukuvu eri abo abansemberera, era nassibwangamu ekitiibwa abantu bonna.’ ” Alooni n’asirika busirisi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Musa n'alyoka agamba Alooni nti, “Kino kye kiikyo Mukama kye yayogera nti, ‘Naatukulizibwanga mu abo abampeereza era n'agulumizibwanga mu maaso g'abantu bonna.’ ” Alooni ne yeesirikira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Musa n'agamba Arooni nti: “Kino Mukama kye yayogerako, bwe yagamba nti: ‘Bonna abampeereza bateekwa okussaamu obutukuvu bwange ekitiibwa. Era nnaagulumizibwanga mu maaso g'abantu bonna.’ ” Arooni n'asirika.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Musa n'alyoka agamba Alooni nti Kino kye kiikyo Mukama kye yayogera nti Naatukulizibwanga mu abo abansemberera, era mu maaso g'abantu bonna naagulumizibwanga. Alooni ne yeesirikira.