Leviticus 10:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amangu ago ne bagenda ne babaggyawo, nga bakyali mu makanzu gaabwe, ne babafulumya ebweru nga Musa bwe yali alagidde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe batyo ne bajja ne basitula baganda baabwe abo nga bwe baali bayambadde ne babatwala ebweru w’olusiisira nga Musa bwe yabagamba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne basembera, ne basitulira emirambo mu ngoye zaagyo ne bagitwala ebweru w'olusiisira; nga Musa bwe yalagira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bajja, ne bagisitulira ku ngoye, ne bagitwala wabweru w'olusiisira, nga Musa bwe yalagira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne basembera, ne babasitula nga bambadde ebizibawo byabwe ne babatwala ebweru w'olusiisira; nga Musa bw'ayogedde.