Leviticus 10:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musa n'agamba Aroni ne batabani be, Eleyazari ne Yitamari nti: “Temusasamaza nviiri zammwe n'ebyambalo temubiyuza, sikulwa nga nammwe mufa, Omukama n'asunguwalira ekibiina kyonna. Bo baganda bammwe, ennyumba yonna eya Yisirayeli ka bakungubagire abo Omukama b'ayokezza omuliro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Musa n’agamba Alooni, ne Eriyazaali ne Isamaali, batabani ba Alooni, nti, “Mmwe temusumulula nviiri zammwe okuzita ne zireebeeta era temuyuza byambalo byammwe nga mukungubaga, kubanga muyinza okufa, n’obusungu bwa Mukama Katonda buyinza okubuubuukira abantu bonna. Naye baganda bammwe, ye nnyumba yonna eya Isirayiri, babakaabire abo Mukama Katonda b’azikirizza n’omuliro.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Musa n'agamba Alooni ne Eriyazaali ne Isamaali, batabani be, nti, “Temutankuula nviiri zammwe, so temuyuza byambalo byammwe; muleme okufa, era Mukama aleme okusunguwalira ekibiina kyonna; naye baganda bammwe, ennyumba ya Isiraeri yonna, bakaabire okwokya okwo Mukama kw'ayokezza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa n'agamba Arooni ne batabani be Eleyazaari ne Yitamaari nti: “Temutankuula enviiri zammwe, wadde okuyuza ebyambalo byammwe, okulaga nti munakuwadde. Bwe munaakola ekyo, mujja kufa, era Mukama ajja kusunguwalira ekibiina kyonna. Naye Bayisirayeli bannammwe bonna, bakkirizibwa okukungubagira okufiirwa okwo, okuleeteddwa omuliro Mukama gw'asindise.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Musa n'agamba Alooni ne Eriyazaali ne Isamaali, batabani be, nti Temusumulula nviiri za ku mitwe gyammwe, so temuyuza byambalo byammwe; muleme okufa, era aleme okusunguwalira ekibiina kyonna: naye baganda bammwe, ennyumba ya Isiraeri yonna, bakaabire okwokya Mukama kw'ayokezza.