Leviticus 10:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mmwe temuva ku mulyango gwa Weema ey'Ensisinkano, sikulwa nga mufa, kubanga omuzigo gw'Omukama ogwabasiize gukyabaliko.” Nabo ne bakola nga Musa bwe yabalagira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era temuva ku mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, temulwa kufa; kubanga muliko amafuta ag’omuzeeyituuni ga Mukama Katonda ag’okwawula.” Ne bakola nga Musa bwe yabalagira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Temufuluma mu mulyango gwa Weema ey'okusisinkanirangamu, muleme okufa; kubanga amafuta ga Mukama ag'okutukuza gali ku mmwe.” Ne bakola ng'ekigambo kya Musa bwe kyali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Temuva ku mulyango gwa Weema ey'okusisinkanirangamu Mukama, lwe mutaafe, kubanga muliko omuzigo ogwabasiigiddwa okwawulirwa Mukama.” Ne bakola nga Musa bwe yagamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
So temufuluma mu mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, muleme okufa: kubanga amafuta ga Mukama ag'okufukako gali ku mmwe. Ne bakola ng'ekigambo kya Musa bwe kyali.