Leviticus 10:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ggwe ne batabani bo nga munaayingira mu Weema ey'Ensisinkano, temunywanga evviini oba ekitamiiza ekirala, sikulwa nga mufa; lino tteeka lya lubeerera amazadde gammwe gonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ggwe ne batabani bo bwe muyingiranga mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu temunywanga envinnyo oba ekyokunywa ekirala kyonna ekitamiiza; bwe mulikikola temulirema kufa. Eryo linaabanga tteeka ery’enkalakkalira ne mu mirembe gyonna egigenda okujja.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Tonywanga ku mwenge newakubadde ekitamiiza kyonna, ggwe n'abaana bo, bwe munaabanga mugenda okuyingira mu Weema ey'okusisinkanirangamu muleme okufa. Lino linaabanga etteeka eritalijjulukuka mu mirembe gyammwe gyonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ggwe ne batabani bo, bwe munaabanga munywedde ku mwenge, oba ku kitamiiza kyonna, temuuyingirenga mu Weema ey'okunsisinkanirangamu. Bwe mulikikola, mugenda kufa. Etteeka lino linaakuumibwanga ab'ezzadde lyammwe ennaku zonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tonywanga ku mwenge newakubadde ekitamiiza, ggwe newakubadde abaana bo awamu naawe, bwe munaayingiranga mu weema ey'okusisinkanirangamu, muleme okufa: linaabanga tteeka eritajjulukuka mu mirembe gyammwe gyonna