Leviticus 11:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye mu by'omu mazzi, mu migga oba mu nnyanja, ekitalina mayindu n'amagamba, mu ebyo ebifumbekedde mu mazzi, ne mu byonna ebisula mu mazzi, mubyenyinyalanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebiramu byonna ebyekuluumulira mu nnyanja ne mu migga naye nga tebiriiko matu oba magagamba binaabanga bya muzizo gye muli.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye buli kiramu ekibeera mu mazzi ekitalina maggwa na magamba, kinaabanga kya muzizo gye muli.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye buli kiramu ekibeera mu mazzi ekitalina maggwa na magalagamba, kinaabanga kya muzizo gye muli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era buli ekitalina maggwa na magamba mu nnyanja ne mu migga, ku byonna ebitambulira mu mazzi ne ku biramu byonna ebiri mu mazzi, bya muzizo gye muli,