Leviticus 11:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebirala mu bibuuka byonna nga birina amagulu ana gokka mubyenyinyalanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ebiwuka ebirala byonna eby’ebiwaawaatiro nga birina amagulu ana binaabanga bya muzizo gye muli.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ebiwuka ebirala ebirina ebiwaawaatiro, eby'amagulu ana bya muzizo gye muli.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ebiwuka byonna ebirala ebirina ebiwaawaatiro, n'amagulu ana, munaabizizanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ebyewalula byonna ebirina ebiwaawaatiro, ebirina amagulu ana, bya muzizo gye muli.