Leviticus 11:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Mugenda kweyonoona n'ebyo; alikwata ku kalannamye waabyo taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Bino nabyo binaabafuulanga abatali balongoofu; buli anaakwatanga ku mulambo gw’ensolo nga zino anaafuukanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Na bino bye binaabafuulanga abatali balongoofu: buli anaabikomangako nga bifudde anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ebisolo bino bye binaabafuulanga abatali balongoofu. Buli anaakoonanga ku mulambo gwabyo, anaasigalanga si mulongoofu okutuusa akawungeezi,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Na bino bye binaabafuulanga abatali balongoofu: buli anaakomanga ku mulambo gwabyo anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi