Leviticus 11:25 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli yenna alirondawo kalannamye waabyo, ayozanga engoye ze, era alisigala si mulongoofu okutuusa akawungeezi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era buli anaasitulanga ekitundu kyonna eky’omulambo gwazo anaateekwanga okwoza engoye ze, kyokka era anaabanga afuuse atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era buli asitula efudde ku zo, anaayozanga engoye ze, era anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
na buli anaasitulanga omulambo gwabyo, anaayozanga ebyambalo bye, era anaasigalanga si mulongoofu okutuusa akawungeezi:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era buli asitula ku mulambo gwabyo anaayozanga engoye ze, era anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.