Leviticus 11:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli nsolo yonna eyawula ekiganja, naye ng'ebitundu by'ekiganja tebyawukanidde ddala, oba nga tezza bwenkulumu, eyo si nnongoofu gye muli. Oli agikutteko taabenga mulongoofu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Buli nsolo yonna erina ekigere ekyaseemu naye nga tekyeyawulidde ddala, oba nga tezza bwenkulumu, eneebanga ya muzizo gye muli. Buli anaakwatanga ku mulambo gwazo anaabanga afuuse atali mulongoofu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buli nsolo eyawulamu ekinuulo, era nga terina kigere kyaseemu, ate nga tezza bwenkulumu, si nnongoofu gye muli: buli anaazikomangako anaabanga atali mulongoofu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
buli nsolo erina ebinuulo naye nga si byawulemu era nga tezza bwenkulumu, munaagibaliranga mu zitali nnongoofu. Buli anaagikoonangako ng'efudde, taabenga mulongoofu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Buli nsolo eyawulamu ekinuulo, so nga terina kigere kyaseemu, so tezza bwenkulumu, si noongoofu gye muli: buli anaazikomangako anaabanga atali mulongoofu.