Leviticus 11:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu bisolo byonna eby'amagulu ana, ebitambuza ebibatu, si birongoofu gye muli; akwatanga ku kalannamye waabyo taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu nsolo zonna ezitambulira ku magulu ana, ezo ezitambulira ku bibatu byazo teziibenga nnongoofu gye muli, buli muntu anaakwatanga ku mulambo gwazo anaabanga afuuse atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era buli nsolo ey'amagulu ana etambuza ebibatu byayo, si nnongoofu gye muli; buli anaagikomangako anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era buli nsolo ey'amagulu ana erina amaala, munaagibaliranga mu zitali nnongoofu. Buli anaagyekoonangako, anaasigalanga si mulongoofu okutuusa akawungeezi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era buli etambuza ebibatu byayo ku nsolo zonna ezitambuza amagulu ana, ezo si nnongoofu gye muli: buli anaakomanga ku mulambo gwazo anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.