Leviticus 11:28 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oli aggyawo kalannamye w'ebyo, ayozanga engoye ze, era taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi, kubanga ebyo byonna si birongoofu gye muli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era n’oyo anaasitulanga omulambo gwazo anaayozanga engoye ze; naye era anaabanga afuuse atali mulongoofu okutuusa akawungeezi. Teziibenga nnongoofu gye muli.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ensolo zino si nnongoofu gye muli, era n'oyo anaazisitulanga nga zifudde anaayozanga engoye ze, era anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oyo anaasitulanga omulambo gw'ensolo eyo, anaayozanga ebyambalo bye, era anaasigalanga si mulongoofu okutuusa akawungeezi. Ensolo ezo munaazibaliranga mu zitali nnongoofu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era oyo asitula omulambo gwazo anaayozanga engoye ze, era anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi: ezo si nnongoofu gye muli.