Leviticus 11:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli nsolo eyawula ekiganja, ekinuulo nga kiryebulemu, ate ng'ezza obwenkulumu, eyo mugiryanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Munaayinzanga okulya ensolo yonna erina ekigere ekyaseemu nga kyeyawulidde ddala, era ng’ezza obwenkulumu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buli nsolo erina ekinuulo ekyawulemu, era erina ekigere ekyaseemu, era ezza obwenkulumu, eyo gye munaalyanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli nsolo erina ebinuulo ebyawulemu era ezza obwenkulumu, eyo gye munaalyanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Buli ekyawulamu ekinuulo, era ekirina ekigere ekyaseemu, era ekizza obwenkulumu, mu nsolo, ekyo kye munalyanga.