Leviticus 11:32 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Singa ekimu ku ebyo, nga kifu, kigwa ku kintu, ekintu ekyo tekibenga kirongoofu, kibeere kya muti, lugoye, ddiba oba kkutiya. Kinnyikibwanga mu mazzi, naye tekibenga kirongoofu okutuusa akawungeezi, oluvannyuma kiriba kirongoofu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era emu ku zo bw’eneefanga n’egwa ku kintu eky’engeri yonna ekikozesebwa, ekintu ekyo kinaafuukanga ekitali kirongoofu, obanga ekintu ekyo kyakolebwa mu muti, oba mu lugoye, oba mu ddiba oba mu kkutiya. Kiteekebwenga mu mazzi. Tekiibenga kirongoofu okutuusa akawungeezi; kyokka oluvannyuma kinaalongookanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ekimu ku ebyo ekifudde, bwe kinaagwanga ku kintu kyonna, kinaakifuulanga ekitali kirongoofu; bwe kibanga ekintu kyonna eky'omuti, oba kyambalo, oba ddiba, oba nsawo oba kintu kyonna kyonna, ekikozesebwa omulimu gwonna, kinaateekebwanga mu mazzi, era kinaabanga ekitali kirongoofu okutuusa akawungeezi; ne kiryoka kiba ekirongoofu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era buli kintu ekinagwibwangako ebintu ebyo nga bifudde, ka kibe kya muti, oba ka kibe lugoye, oba ddiba, oba nsawo, oba ekirala kyonna ekikozesebwa, tekiibenga kirongoofu. Kinaateekwanga okunnyikibwa mu mazzi, naye ne kisigala nga si kirongoofu okutuusa akawungeezi, ne kiryoka kiba ekirongoofu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ekintu kyonna ekinaagwibwangako kyonna kyonna ku byo, nga bifudde, kinaabanga ekitali kirongoofu; bwe kibanga ekintu kyonna eky'omuti, oba kyambalo, oba ddiba, oba nsawo, oba kintu kyonna kyonna, ekikoza omulimu gwonna, kikigwaniranga okuteekebwa mu mazzi, era kinaabanga ekitali kirongoofu okutuusa akawungeezi; ne kiryoka kiba ekirongoofu.