Leviticus 11:33 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye bwe kigwa mu kintu eky'ebbumba, kyonna ekirimu tekibenga kirongoofu, nakyo mukyasanga bwasa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era emu ku zo bw’eneegwanga mu nsaka ey’ebbumba, byonna ebiri mu nsaka omwo binaafuukanga ebitali birongoofu, era ensaka eyo muteekwa buteekwa okugyasanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Singa bigwa mu kintu eky'ebbumba, byonna ebirimu tebiibenga birongoofu, era eky'ebbumba ekyo munaakyasanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Singa bigwa mu kintu eky'ebbumba, byonna ebirimu tebiibenga birongoofu, era eky'ebbumba ekyo kinaayasibwanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Na buli kintu eky'ebbumba, ekinaagwibwangamu kyonna kyonna ku byo, ekibanga mu kyo kyonna kinaabanga ekitali kirongoofu, nakyo munaakyasanga.