Leviticus 11:34 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Emmere ey'okulya bw'eba nga yatonnyeeko amazzi agavudde mu nsuwa eyo, teebenga nnongoofu; na buli kyakunywa ekivaamu tekiibenga kirongoofu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Emmere eneebanga egenda okuliibwa naye n’ebaako amazzi agavudde mu nsaka omwo, teebenga nnongoofu, n’amazzi agandinywereddwa okuva mu nsaka omwo tegaabenga malongoofu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buli ekiriibwa bwe kinaayikangako amazzi agavudde mu kye bbumba ekitali kirongoofu; kinaabanga ekitali kirongoofu, era buli kya kunywa ekinanywebwanga okuva mu ky'ebbumba ekyo, kinaabanga ekitali kirongoofu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli kyakulya ekyandisobodde okuliika, naye ne kiyiibwako amazzi agavudde mu ky'ebbumba ekyo, tekiibenga kirongoofu, era buli kyakunywa mu ky'ebbumba ekyo, tekiibenga kirongoofu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Eky'okulya kyonna ekirimu ekiriika, ekiyinza okufukibwako amazzi, kinaabanga ekitali kirongoofu: na buli kya kunywa ekinaaywebwanga mu buli kintu (ekiri bwe kityo) kinaabanga ekitali kirongoofu.