Leviticus 11:35 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Na buli kintu ekitundu kya kalannamye kwe kiba kigudde tekibenga kirongoofu; bwe kaba akabiga oba entamu byasibwanga bwasibwa, si birongoofu; si birongoofu gye muli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era buli kintu kyonna omulambo gw’ensolo zino kwe gunaabanga gugudde ku masiga okufumbirwa oba mu ntamu, binaayasibwayasibwanga, kubanga si birongoofu; era tebiibenga birongoofu gye muli.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era buli kintu ekinaagwibwangako ekintu kyonna ku ebyo ebifudde, kinaabanga ekitali kirongoofu; oba nga kigudde ku kabiga, oba masiga, kinaamenyebwamenyebwanga; si birongoofu, era binaabanga ebitali birongoofu gye muli.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli kintu ekinaagwibwangako ebintu ebyo nga bifudde, tekiibenga kirongoofu: oba kyoto, oba masiga ga ntamu, binaamenyebwanga. Si birongoofu, era munaabizizanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era buli kintu ekinaagwibwangako ekitundu kyonna eky'omulambo gwabyo kinaabanga ekitali kirongoofu; oba kabiga, oba amasiga g'entamu, kinaamenyebwamenyebwanga: si birongoofu, era binaabanga ebitali birongoofu gye muli.