Leviticus 11:36 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oluzzi n'ekidiba omukuŋŋaanira amazzi bisigala birongoofu, naye akoona ku kalannamye waabyo taabenga mulongoofu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye bwe gunaagwanga mu luzzi oba mu ppipa y’amazzi, ebyo byo binaasigalanga birongoofu; naye oyo yenna anaakwatanga ku mulambo ogwo taabenga mulongoofu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye oluzzi oba ekidiba bwe kinaafiirangamu ekimu ku ebyo ebitali birongoofu, oluzzi olwo n'ekidiba binaasigalanga nga birongoofu, naye ekinaakomanga ku ekyo ekifiiriddemu, kinaabanga ekitali kirongoofu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye oluzzi oba ttanka erimu amazzi, binaabanga birongoofu, newaakubadde ng'ekirala kyonna ekikoona ku bintu ebyo nga bifudde tekiba kirongoofu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye oluzzi oba obunnya omuli amazzi agakuŋŋaanyizibwa kinaabanga ekirongoofu: naye ekinaakomanga ku mulambo gwabyo kinaabanga ekitali kirongoofu.