Leviticus 11:39 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Ensolo gye mukkirizibwa okulya bw'efanga, oli amala akwata ku kalannamye waayo, taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Singa ensolo yonna ku ezo ze mukkirizibwa okulya efa, oyo yenna anaakwatanga ku mulambo gwayo anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Era oba ng'ensolo yonna, eriibwa efa, akoma ku yo anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Singa ensolo eyinza okuliibwa efa, buli agikoonako taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era oba ng'ensolo yonna, gye muyinza okulyako, efa; akoma ku mulambo gwayo anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.