Leviticus 11:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye zino temuziryanga okuva mu ezo ezizza obwenkulumu oba mu zaawula ekiganja: eŋŋamiya kubanga ezza obwenkulumu naye teyawula kiganja; eyo si nnongoofu gye muli;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyokka ezo ezizza obwenkulumu bwokka, oba ezirina ebigere ebyaseemu byokka, temuziryanga. Ggamba eŋŋamira, newaakubadde ng’ezza obwenkulumu naye ebigere byayo si byaseemu; noolwekyo si nnongoofu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Zino ze mutalyanga ku ezo ezizza obwenkulumu oba ku ezo ezaawulamu ekinuulo: eŋŋamira, kubanga ezza obwenkulumu naye teyawulamu kinuulo, eyo si nnongoofu gye muli.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye temuulyenga ŋŋamiya, n'omusu, n'akamyu. Munaabibaliranga mu bitali birongoofu, kubanga newaakubadde bizza obwenkulumu, naye tebirina binuulo byawulemu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bino bye mutalyanga ku ebyo ebizza obwenkulumu oba ku ebyo ebyawulamu ekinuulo: eŋŋamira, kubanga ezza obwenkulumu naye teyawulamu kinuulo, eyo si nnongoofu gye muli.