Leviticus 11:40 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abanga alidde ku kalannamye waayo, ayozanga engoye ze, era taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi. N'oyo anaabanga asituddewo kalannamye oyo ayozanga engoye ze, era taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oyo anaalyanga ku nnyama y’omulambo kinaamusaaniranga okwoza engoye ze, era taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi. Oyo yenna anaasitulanga omulambo, kinaamusaaniranga okwoza engoye ze, naye taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'oyo anaagiryangako anaayozanga engoye ze era anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi, era n'oyo anaagiggyangawo anaayozanga engoye ze era anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ate oyo anaagiryangako, anaayozanga ebyambalo bye era taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi. N'oyo anaagisitulanga ng'efudde, anaayozanga ebyambalo bye, era anaasigalanga si mulongoofu okutuusa akawungeezi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'oyo anaalyanga ku mulambo gwayo anaayozanga engoye ze era anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi: era n'oyo anaasitulanga omulambo gwayo anaayozanga engoye ze era anaabanga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi.