Leviticus 11:44 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nze Mukama Katonda wammwe; mwetukuze mubeere batukuvu, kubanga nange ndi mutukuvu. Temweyonoonanga olw'ekintu n'ekimu ekyewalula ku ttaka,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga Nze Mukama Katonda wammwe, kale mwetukuzanga ne mubeera batukuvu, kubanga Nze ndi mutukuvu. Temwesemberezanga ebitonde ebyo ebitambulira ku ttaka ne bibafuula abatali balongoofu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga nze Mukama Katonda wammwe; kale mwetukuzenga, mubeerenga abatukuvu, kubanga nze ndi mutukuvu. Temweyonoonanga na ngeri yonna ey'ekyewalula ku nsi so.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nze Mukama Katonda wammwe. Mubeerenga batuukirivu, kubanga nze ndi mutuukirivu. Temwejaajaamyanga olw'ekintu n'ekimu ekyekululira ku ttaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga nze Mukama Katonda wammwe: kale mwetukuzenga, mubeerenga abatukuvu; kubanga nze ndi mutukuvu: so temwereeteranga mpitambi olw'engeri yonna ey'ekyewalula ekitambula ku nsi.