Leviticus 11:6 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
akamyu, kubanga nako kazza obwenkulumu naye tekaawula kiganja, si kalongoofu gye muli;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ate n’akamyu ak’omu nsiko, newaakubadde nako kazza obwenkulumu naye ebigere byako si byaseemu, noolwekyo si kalongoofu, era temukalyanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Akamyu, kubanga kazza obwenkulumu naye tekaawulamu kinuulo, ako si kalongoofu gye muli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'akamyu, kubanga kazza obwenkulumu naye tekaawulamu kinuulo, ako si kalongoofu gye muli.