Leviticus 11:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'embizzi eyawula ekiganja, ekinuulo kiryebulemu, naye tezza bwenkulumu, si nnongoofu gye muli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ate mulabe embizzi, newaakubadde ng’ekigere kyayo kyaseemu, ate nga kyeyawulidde ddala, naye tezza bwenkulumu; noolwekyo si nnongoofu gye muli.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Embizzi, kubanga eyawulamu ekinuulo, era erina ekigere ekyaseemu, naye tezza bwenkulumu, eyo si nnongoofu gye muli.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era temuulyenga mbizzi. Munaagibaliranga mu bitali birongofu, kubanga newaakubadde erina ebinuulo ebyawulemu, naye tezza bwenkulumu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'embizzi kubanga eyawulamu ekinuulo era erina ekigere ekyaseemu, naye tezza bwenkulumu, eyo si nnongoofu gye muli.