Leviticus 12:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Gamba Abayisirayeli nti: “ ‘Omukazi bw'abanga olubuto n'azaala omwana mulenzi, anaamalanga ennaku musanvu nga si mulongoofu, nga bw'aba mu biseera bye eby'omwezi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Abaana ba Isirayiri bagambe nti, ‘Omukazi bw’anaabanga olubuto, n’azaala omwana nga wabulenzi, omukazi oyo taabenga mulongoofu okumala ennaku musanvu, okufaanana nga bw’atabeera mulongoofu ng’ali mu kiseera ky’okulwala kw’abakazi okwa buli mwezi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Gamba abaana ba Isiraeri nti omukazi bw'anaabanga olubuto n'azaala omwana ow'obulenzi, anaabanga atali mulongoofu ennaku musanvu; nga bw'abeera mu nnaku ez'okweyawula kw'endwadde ye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Gamba Abayisirayeli nti omukazi bw'anaabanga olubuto n'azaala omwana ow'obulenzi, ennaku omusanvu eziddirira, taabenga mulongoofu, nga bw'ataba mulongoofu mu biseera bye eby'empisa y'abakazi eya buli mwezi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Gamba abaana ba Isiraeri nti Omukazi bw'anaabanga olubuto n'azaala omwana ow'obulenzi, kale omukazi oyo anaabanga atali mulongoofu ennaku musanvu; nga bw'abeera mu nnaku ez'okweyawula kw'endwadde ye, bw'atyo bw'anaabanga atali mulongoofu.