Leviticus 12:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukazi anaalindanga ennaku amakumi asatu mu ssatu okutukuzibwako omusaayi. Takwatanga ku kitukuvu na kimu, era tayingiranga mu kifo kitukuvu, okutuusa ennaku ez'okutukuzibwa kwe nga ziwedde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ate omukazi anaalindanga ne wayitawo ennaku amakumi asatu mu ssatu alyoke atukuzibwe olw’omusaayi ogwamuvaamu ng’azaala. Taakwatenga ku kintu ekitukuvu wadde okuyingiranga mu watukuvu okutuusa ng’ennaku z’okutukuzibwa kwe ziweddeko.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era omukazi anaamalanga ennaku asatu mu ssatu (33) okutuusa ng'omusaayi ogumuvaamu olw'okuzaala nga gulekedde awo. Mu kiseera ekyo taakomenga ku kintu kyonna ekitukuvu, era taayingirenga mu kifo ekitukuvu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olwo omukazi oyo anaamalanga ennaku amakumi asatu mu ssatu ng'abalibwa nti tannatukuzibwa, olw'omusaayi ogwamuvaamu ng'azaala. Taakwatenga ku kintu kitukuvu, wadde okuyingira mu kifo ekitukuvu, okutuusa ennaku ez'okutukuzibwa kwe lwe zinaggwangako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era omukazi anaamalanga ennaku asatu mu ssatu mu musaayi ogw'okutukuzibwa kwe; takomanga ku kintu ekitukuvu, so tayingiranga mu kifo ekitukuvu, okutuusa ennaku ez'okutukuzibwa kwe lwe ziriggwa.