Leviticus 12:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Bw'azaalanga omuwala, wa kumalanga ennaku kkumi na nnya nga si mulongoofu, nga bw'aba mu biseera bye eby'omwezi. Anaalindanga ennaku nkaaga mu mukaaga okutukuzibwako ekikulukuto ky'omusaayi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye bw’anaabanga azadde omwana wabuwala, omukazi taabenga mulongoofu okumala wiiki bbiri, nga bw’abeera ng’ali mu kiseera kye eky’okulwala kw’abakazi okwa buli mwezi. Ate anaalindanga ennaku nkaaga mu mukaaga alyoke alongoosebwe olw’omusaayi ogwamuvaamu ng’azaala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye bw'anaazaalanga omwana ow'obuwala, anaabanga atali mulongoofu okumala Ssabbiiti bbiri, nga bw'abeera mu kweyawula kwe; era anaamalanga ennaku nkaaga mu mukaaga (66) nga si mulongoofu okutuusa ng'omusaayi ogumuvaamu olw'okuzaala gulekedde awo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye bw'anaazaalanga omwana ow'obuwala, anaamalanga ennaku kkumi na nnya nga si mulongoofu, nga bw'aba mu biseera bye ebya buli mwezi. Olwo anaamalanga ennaku endala nkaaga mu mukaaga ng'abalibwa nti tannatukuzibwa olw'omusaayi ogwamuvaamu ng'azaala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye bw'anaazaalanga omwana ow'obuwala, kale anaabanga atali mulongoofu ssabbiiti bbiri, nga bw'abeera mu kweyawula kwe; era anaamalanga ennaku nkaaga mu mukaaga mu musaayi ogw'okutukuzibwa kwe.