Leviticus 12:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“ ‘Ennaku z'okutukuzibwa kwe bwe ziggwangako olw'omulenzi oba olw'omuwala, atwaliranga kabona ku mulyango gwa Weema ey'Omukama akaliga ak'omwaka ogumu akalume, olw'ekitambiro ekyokye, n'enjiibwa ento oba ejjiba, olw'ekitambiro olw'ekibi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“ ‘Ennaku z’omukazi oyo ez’okutukuzibwa bwe zinaggwangako, bw’anaabanga azadde omwana mulenzi oba muwala, anaaleetanga eri kabona ku mulyango gw’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, omwana gw’endiga oguwezezza omwaka gumu obukulu okuguwaayo ng’ekiweebwayo ekyokebwa, ng’enjiibwa ento oba ejjiba ng’ekiweebwayo olw’ekibi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ennaku ez'okutukuzibwa kwe bwe ziggwanga, ez'ow'obulenzi, oba za wa buwala, anaaleetanga eri kabona, ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu, omwana gw'endiga ogw'omwaka ogumu, okuba ekiweebwayo ekyokebwa, n'ejjiba etto, oba kaamukuukulu, okuba ekiweebwayo olw'ekibi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Awo ennaku ze ez'okutukuzibwa bwe zinaggwangako, ez'omwana ow'obulenzi oba ow'obuwala, omukazi oyo anaaleetanga eri kabona ku mulyango gw'Eweema ey'okusisinkanirangamu Mukama, omwana gw'endiga ogw'omwaka ogumu, gube ekitone ekiweebwayo ekyokebwa, n'enjiibwa, oba ejjiba etto, okuba ekiweebwayo olw'ekibi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ennaku ez'okutukuzibwa kwe bwe ziggwanga; ez'ow'obulenzi, oba za wa buwala, anaaleetanga omwana gw'endiga ogw'omwaka ogw'olubereberye okuba ekiweebwayo ekyokebwa, n'ejjiba etto, oba kaamukuukulu, okuba ekiweebwayo olw'ekibi, ku mulyango gw'eweema ey'okusisinkanirangamu, eri kabona: