Leviticus 12:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abiweerezanga mu maaso g'Omukama okuddaabiriza ku lulwe, olwo anaabanga atukuziddwako okukulukuta kw'omusaayi gwe. “ ‘Lino lye tteeka ku oli abeera azadde ow'obulenzi oba ow'obuwala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabona anaabiwangayo eri Mukama okutangirira omukazi oyo; bw’atyo anaabeeranga mulongoofu olw’omusaayi ogwamuvaamu ng’amaze okuzaala. “ ‘Ago ge mateeka agakwata ku mukazi anaazaalanga omwana owoobulenzi oba owoobuwala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabona anaagiwangayo mu maaso ga Mukama, n'amutangirira; kale anaalongoosebwanga mu nsulo y'omusaayi gwe. Eryo lye tteeka erifuga omukazi azaala omwana ow'obulenzi oba ow'obuwala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabona anaawangayo ekitone ekyo eri Mukama n'addaabiririza omukazi oyo, omukazi oyo n'atukuzibwa olw'omusaayi ogwamuvaamu. Eryo lye tteeka erifuga omukazi azaala omwana, ow'obulenzi oba ow'obuwala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kale anaagiwangayo mu maaso ga Mukama, n'amutangirira; kale anaalongoosebwanga mu nsulo y'omusaayi gwe. Eryo lye tteeka ly'omukazi azaala, oba wa bulenzi oba wa buwala.