Leviticus 12:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okugerera ku nfuna ye, bw'aba tasobola kuleeta kaliga, aleetanga amayiba abiri, oba obuyiibwa bubiri; akamu ka kitambiro ekyokye n'akalala ka kitambiro olw'ekibi. Olwo kabona anaddaabirizanga ku lulwe, olwo anaabanga mulongoofu.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’anaabanga tasobola kuwaayo mwana gwa ndiga, anaaleetanga bibiri bibiri ku bino: enjiibwa ento bbiri oba amayiba abiri, ekimu nga ky’ekiweebwayo ekyokebwa n’ekirala nga ky’ekiweebwayo olw’ekibi. Mu ngeri eno kabona anaamutangiririranga, bw’atyo n’afuuka mulongoofu.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'ataasobolenga kuleeta mwana gwa ndiga, kale anaaleetanga bukaamukuukulu bubiri, oba amayiba amato abiri; erimu okuba ekiweebwayo ekyokebwa, n'eddala okuba ekiweebwayo olw'ekibi; kale kabona anaamutangiriranga, naye anaabanga mulongoofu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Omukazi bw'aba tasobola kuleeta mwana gwa ndiga olw'enfuna ye entono, anaaleetanga amayiba amato abiri, oba enjiibwa bbiri, emu ebe ekiweebwayo ekyokebwa, n'endala ebe ekiweebwayo olw'ekibi. Kabona anaamuddaabiririzanga, n'aba mulongoofu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era mu bintu bye bw'ataayinzenga kuleeta mwana gwa ndiga, kale anaatwalanga bakaamukuukulu babiri, oba amayiba amato abiri; erimu okuba ekiweebwayo ekyokebwa, n'eddala okuba ekiweebwayo olw'ekibi: era kabona anaamutangiriranga era anaabanga mulongoofu.