Leviticus 13:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabona anaamukeberanga, era ku lususu bwe kubeerangako ekizimba ekyeru, n'obwoya nga bweruukiridde, n'ennyamma ento ng'etandise okujja mu kizimba,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabona anaamukeberanga, bw’anaasangangawo obuzimbu obweru ku lususu nga bwerusizza n’obwoya, era awazimbye nga waliwo n’ennyama y’omubiri erungudde,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kabona anaamukeberanga, kale ekizimba ekyeru bwe kinaabanga ku lususu era nga kifudde obwoya okuba obweru era ekizimba nga kirungudde;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'amukebera. Bw'aba n'ekizimba ekyeru ku lususu lwe, ekyerusizza n'obwoya, era ng'omubiri gwesaliridde awazimbye,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kabona n'akebera, kale, laba, ekizimba ekyeru bwe kinaabanga ku ddiba, era nga kifudde obwoya okuba obweru, era ennyama enjere ennamu ng'eri awali ekizimba,